Buganda ewakanyizza ekyokuweebwa ssente enkalu mu kifo kya motoka
Owek. Israel Kazibwe Kitooke Minisita w’Amawulire n’Okukunga Abantu era Omwogezi w’Obwakabaka; “Ku nsonga z’emmotoka ezagabiddwa Gavumenti eri Abakulembeze b’Ennono, Obwakabaka bwa Buganda tebuweebwanga mmotoka yonna wadde ssente ezigula emmotoka era tebumanyisibwanga ku nteekateeka yonna eya Gavumenti ekwata ku kugaba emmotoka……Emabegako, Katikkiro wa Buganda yasisinkanako ne Minister Betty Amongi mu biseera nga Gavumenti era eyagala mbu okutandika okusasula Kabaka omusaala, Katikkiro yakirambika bulungi nti Kabaka tafuna musaala. Wabula Gavumenti esobola okuwagira enteekateeka z’Obwakabaka ez’enjawulo era twebaza tugyebaza okutuwagira mu nteekateeka ng’okumaliriza Amasiro, ttabamiruka w’Abakyala, n’nteekateeka endala nga ezo”.
#ffemmwemmweffe

