‘bobi wine ayagala kulaga nti asinga kabaka obuganzi’ – Kyalya

Eyavuganyako ku bwa Pulezidenti bwa Yuganda Maureen Kyalya Walube avuddeyo nategeeza nga bwali omwetegefu okuddamu okwesimbawo ku kifo kino mu mwaka 2021 era nga agira mu kibiina ky’ebyobufuzi ekikye ekipya kyagenda okuwandiisa.
Ono mu kalulu ka 2016 yafuna obululu 40,598 (0.44%). Pulezidenti Museveni nafuna 5,617,503 (60.75), Col. Dr. Kizza Besigye nafuna 3,270,290 (35.370. Kyalya ye muntu ow’okubiri okuvaayo nalangirira nga adirira Omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine.
Kyalya mukwogera ku Bobi Wine okuvaayo nalangirira agamba nti ono ayagadde kutandika kusinzibwa asiimulewo Ssaabasajja Kabaka. Ayongeddeko nti alowooza nti Bobi Wine yandiba nekikyamu kuba ayagala kutandikawo lutalo wakati we ne Kabaka nti ani asinga obuganzi n’amaanyi mu Buganda ekiyinza okuleetawo obuzibu.
Ono era ayongendeko nti bwewekkaanya obulungi Ssemateeka wa Yuganda owa 1962, Kabaka wa Buganda yalina okubeera omukulembeze w’eggwanga olwo Pulezidenti abeere Ssaabaminisita wa Yuganda. Ebyobufuzi bya Yuganda byategekebwa nga bya Bungereza.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.