Bobi Wine alina ebitongole ebimuwa obuyambi asuule Gavumenti – Esther Mbayo

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Minisita avunaanyizibwa ku nsonga za Pulezidenti Esther Mbulakubuza Mbayo nga akiikirira bakyala mu District y’e Luuka bwabadde ayogera eri na RDCs abali mu lusirika ku Hotel Brovad e Masaka agambye nti Omubaka wa Kyaddondo Kyagulanyi Robert Ssentamu aka Bobi Wine tali yekka wabula ayambibwako ebitongole by’obwannakyewa okuva ebweru w’eggwanga mbu okuwamba Gavumenti ya Pulezidenti Museveni.

Ategeezeza nti bali mukukinoonyerezaako era tebajja kukiguminkiriza era nga n’ebitongole ebimu ku bibadde bikolagana naye byavudde dda mu ggwanga.

Asabye abavubuka okwenyumiriza mw’ebyo gavumenti byebakoledde okusinga okwenyigira mu bintu ebimenya amateeka.

Share.

Leave A Reply