beti kamya ayimirizza aba kcca 10

Juma Akankwasa nga y’omu ku basuubuzi abakolera mu Ppaaka ya takisi enkadde yawuniikirizza Abakungu ba Gavumenti okwabadde ne Minisita wa Kampala Beti Olive Namisango Kamya, Meeya wa Kampala Charles Emmanuel Sserunjogi bweyabadde atttottola engeri abasirikale b’ekitongole kya Kampala Capital City Authority – KCCAl nga badduumirwa Jjemba akulira ebikwekweto ebikwata abatembeeyi mu kibuga wakati gye bamusazeemu ebiso, okumukuba agakonde wamu ne tteke nga bamulanga okutembeeyeza mu kibuga nga tekikirizibwa.
Ono agamba nti engeri abasajja bano gyebamutulugunyizaamu yakomye ku mugo gwa ntaana. Akankwasa agamba nti bano tebakoma kukumutuluguntya kyokka wabula bamutwalako emitwalo gye 20 n’essimu eyomungalo nga tebanamusuula ku kabangali gyebaali batambulirako balyoke bamutwale ku Poliisi ya CPS nga asigaddeko kikuba mukono.
Ono era yategeezezza nti; ku CPS abaserikale ba KCCA babadde bamanyi nti agenda kufiirayo era kwe kumulekera aba poliisi baayo ne bamuddusa e Mulago gye bamukasuse, owa Red Cross namuyambe n’afuna obujjanjabi obwamuzizza engulu.
Ate ye Paul Kafeero yabalaze ebifaananyi bye ng’abaserikale ba KCCA bamukuba ku kabangali okufaananako abatikka ebyamaguzi ku loole oluvannyuma lw’okumukuba agakonde n’ensambaggere ebyamulese ng’atiirika musaayi.
Abasuubuzi abalala okwabadde Winne Nakate ne Jane Kabasinguzi baakulukusizza amaziga nga nabo battottola engeri abaserikale bano gye baabakuttemu bwe baabambuddemu sikaati n’okubayuliza obuwale bw’omunda.
Minisita wa Kampala Beti Kamya yennyamidde nnyo olw’engeri ey’ettima abasirikale ba KCCA gyebayisaamu abasuubuzi era mukukkakkanya emitima gyaabwe yalagidde bano ekumi bayimirizibwe ku mirimu.

0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply