Besigye Police emusikidde mu mmotoka ye okutuuka ku CPS – Kampala

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Police mu ttuntu lya leero esanze akaseera akazibu okuggya Col Dr. Kizza Besigye ku Mini. Price mu Kampala wakati oluvannyuma lw’okugikuba ekimmooni n’ayingira ekibuga nga ate yabadde emuuteegedde mu maka ge e Kasangati.

Okumuggya mu kifo kino emusikidde mu mmotoka ye nga tavuddeemu nga ekozesa kasiringi ya Police n’emutuusa ku CPS gy’esobodde okumuggyiramu.

Abantu baggadde amaduuka ku Mini – Price , Gazaland, Mukwano, Cornerstone , Majestic Plaza n’ebizimbe ebirala ebiriraanyawo nga bwebayimba “K’OGIKWATAKO”era wano Police ewaliriziddwa okukuba omukka ogubalagala n’amasasi mu bbanga okubagumbulula .

 

Share.

Leave A Reply