Bannayuganda mugondere ebiragiro bya Pulezidenti – Gen. Jeje Odongo

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Minisita w’Ensongo z’omunda mu Ggwanga General Haji Abubaker Jeje Odongo Odongo avuddeyo nalaga obwennyamivu ku bantu abasazeewo okufuula amaka gaabwe amabbaala. Minisita agamba nti Yuganda ebadde ekoze bulungi oluvannyuma lw’okuwera amabbaala, ebidduula n’ebivvulu.Minisita agamba nti ebiragiro Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni byeyateekawo tebyagenderera kulumya yadde okubonereza Bannayuganda mu ngeri yonna wabula kukuuma Bannayuganda nga balamu nti era tubigondere ekyosi kimale okuyita.

Share.

Leave A Reply