Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa? News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill News: Okwewandiisa mu Ngule kusembedde anti kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba.
ON NOW Ebifudde mu wiiki ▶ UP NEXT Lutaba Njaliire 4:00 PM - 8:00 PM
Now Playing · 246 listening Simba FM Live

On Air

Ebifudde mu wiiki

News Team

9:00 AM - 12:00 PM 9:00 AM - 12:00 PM

30 basimattuse okuwanikibwa ku kalabba

August 25, 2016 · Mubiru Ali

Abasibe abaasoba mu 30 mu kkomera ekkulu ery’e  Luzira basimattuse okuwanikibwa ku kalabba oluvannyuma lwa kkooti enkulu mu Kampala okukendeezaako ku  kibonerezo kyabwe ne kidda ku kusibwa emyaka 10 ne 20 .

Asatu bano baali bvazza emisango egya nnamunkululu era nga ekibonerezo kyabwe kyali  kyali kyakakasibwa dda  kkooti ensukkulumu  oluvannyuma lw’emisango egy’obutemu, obwa kkondo obw’ekika ekya waggulu gattako okwekakaatika ku baana abatanneetuuka .

Bangi ku bano babadde bamaze emyaka  esatu mu kkomera nga balinda ekibonerezo kino eky’akalabba .