Bannayuganda abali emitala w’amayanja mwewandiise – Minisita Oryem

Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’ebweru w’eggwanga Henry Okello Oryem alagidde bannayuganda bonna abali emitala w’amayanja mu mawanga ag’enjawulo okwewandiisa ku bitebe bya Yuganda ebisangibwa mu mawanga gyebali , kibayamba nnyo mu biseera eby’obuzibu .

Nkumi na nkumi za Bannayuganda basaasaanidde mu mawanga ag’enjawulo omuli South Africa, amawanga ga Buwalabu, China,  Bungereza , America n’awalala  gyebaagenda okuwenjeza ekigulira amagala eddiba .

Oryem agamba nti newankubadde nga Gavumenti eri mu kaweefube w’okuggya bannayuganda mu Sudan ey’aserengeta olw’okulwagagana okuliyo, naye tebamanyi bulungi muwendo gwa bannayugada mutuufu guli mu ggwanga lino , ebifo byebalimu gattako n’emirimu gyebakola kubanga bangi ku bo eky’okwewandiisa ku kitebe kya Yuganda baakisuula muguluka .

Wabula okusinziira ku bubalo bya Minisitule y’ensonga  z’ebweru w’eggwanga ebya 2013 biraga nti bannayuganda abali mu Sudan ey’amaserengeta bali 20.000 , kyokka abeewandiisa ku kitebe kya Yuganda mu ggwanga lino bali 8000.

 

0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply