Bannakibiina kya NUP okuli Eddie Mutwe baguddwako emisango emirala
Olunaku olwaleero Bannamateeka ba Bannakibiina kya National Unity Platform okuli; Kivumbi Achileo, Eddie Mutwe, Gadafi, ne Wakabi Smart bataddemu okusaba kwabano okweyimirirwa. Omulamuzi bano abazzizzaayo ku alimanda okutuusa nga 22/8/2025 lwanawa ensala ye.
Bano wabula baleeteddwa mu Kkooti y’Omulamuzi e Kanyanya mu Kampala nebaggulwako emisango emirala egyokukola parade eyefaanaanyirizaako ey’amaggye ku Kitebe kya NUP ku Kavvule.
Bya Christina Nabatanzi

