Bannakibiina kya NUP akalulu bakawangulidde mu kkomera

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Bannakibiina kya National Unity Platform – NUP abagambibwa okuba nga babuzibwawo ab’ebyokwerinda e Mpigi bawangudde ebifo kwebabadde besimbyeko babiwangudde. Bano kuliko; Abdul Rashid Nkinga aka Jjaja Katikanyonyi, abadde yesimbyeewo ku kifo kya Ssentebe wa Buwama Town Council kigambibwa ono yawambibwa nga 1-Jan-2021, Baker Kalyango aka Engo ya Firebase bamukwatira mu Disitulikiti y’e Kalangala nga 30-Dec-2020 ne Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine.
Avunaanyizibwa ku by’okulonda mu Disitulikiti y’e Mpigi Flavia Mujurizi alangiridde Nkinga nga Ssentebe omulonde owa Buwama Town Council ne Kalyango nga Councilor akiikirira Konkoma Ward ku Mpigi Town Council.
Bano ebifo ebimu tebabinoonyamu kalulu nga obuwanguzi bwabasanze mu kaduukulu.
Nkinga yafunye obululu 2778 ate banne abalala 8 babadde avuganya nabo okuli Denis Kiyimba owa National Resistance Movement – NRM eyafunye 790, Ismail Mukago Forum for Democratic Change (FDC) 44, Gregory Muwanga abaddeko (independent) 1010 ne Emmanuel Sseruuma (independent) 172.
Share.

Leave A Reply