Bamukutte lwakutunda ttaka litali lirye

Poliisi ye Bweyogerere ekutte omusajja agabibwa okutunda ettaka lya Acre 1 kubakadde 80 nga sirirye.

Amos Kinene 62 nga musuubuzi era nga mutuuze w’e Mutungo zone 4, mu Nakawa Division mu Kampala District. Ono kigambibwa nti tatunda ettaka erisangibwa e Lumuli Sseeta, Goma Division, Mukono District nga yaliguza Gideon Kyaterekera nga 19 – April – 2018 namuwa ekyapa ekijingirire nafuna ssente mu lukujjukuju.

Mr. Kyaterekera bweyatwala abapumta okukuba ettaka lino nebasanga nga ettaka lino lyaliko ‘Caveat’ era nga lya muntu mulala.

Ono yaguddwako omusango ogwokujingirira ebiwandiiko, okufuna ensimbi mu lukujukuju era nga wakutwalibwa mu kkooti avunaanibwe.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
ABATUUZE E GOMBA BATEMYE ABABAGOBA KU TTAKA