Bakutte abadde ayambadde ebyambalo by’amaggye asobole okuvuga emotoka

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Enkya yaleero mu Divizoni y’e Nakawa abasajja babiri bakwatiddwa ku Check Point y’e Nakawa ku Spear Motors nga bambadde yunifoomu y’eggye ekkuuma byalo. Bano kubaddeko Agaba Michael 35, nga mutuuze w’e Luteete Kerezia Zone Kyaddondo East mu Disitulikiti y’e Wakiso nga abadde avuga emotoka nnamba UBF 472F nga Yunifooma abadde agitaddeko amayinja ga Captain n’essaati endala ebadde ku mutto gwemabega.Munne omulala Byaruhanga Jackson, nga manager wa Semax Lodges naye akwatiddwa nga ye omuzeeyi gwebabadde batwalako alekeddwa okweyongerayo e Buikwe.Bano bombi bakuumirwa ku Poliisi ya Jinja Road nga bwebalindirira okutwalibwa ku kitebe kya CMI.Agaba agamba nti ebyambalo bino bya kizibwe we Maj. Sabiti Tushabe nga akolera mu nkambi esangibwa mu Disitulikiti y’e Kiruhura.Byaruhanga agamba nti Agaba yazze n’ebyambalo okuva ewuwe namusaba amuyambeko batwale emotoka e Jinja nga ya Ssentebe wa Luteete A Ssemakula Saul.

Share.

Leave A Reply