Babakutte n’embuzi 15 mu takisi

Poliisi mu Kampala ekutte abasajja 2 nga babadde n’embuzi 15 mu takisi ezirowoozebwa okuba nga zabiddwa okuva ku mwalo e Ssenyi mu Disitulikiti y’e Mukono.
Mukiibi Richard 52, nga ono ddereeva wa takisi ne Ssenyange Richard nga Conductor bonna nga bakolera ku siteegi y’e Nkokonjeru bebakwatiddwa Poliisi nga batambuliza embuzi mu takisi nnamba UBB 395K nga basangiddwa Kabuusu.
Bano bagamba nti bapangisiddwa omusajja gwebatamanyi nabagamba bazitwale mu katale k’e Nalukolongo.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Ba puliida bakyasoya ebibuuzo