Ababaka b’oludda oluvuganya Gavumenti nga bakulembeddwamu akulira oludda luno Munnakibiina kya National Unity Platform – NUP Hon. Mathias Mpuuga Nsamba beevumbye akafubo mwebagenda okusunsulira abanaabakwatira bendera ku bifo okuli eky’omumyuuka wa Sipiika wamu n’ekya Sipiika.
Muno mwebalondedde Omubaka wa Bugiri Municipality Munnakibiina kya JEEMA Hon. Asuman Basaalirwa okubakwatira bendera ku kifo kya Sipiika.