archbishop awakanyiza empaka z’okwoleka mungu beyagemulira obutuuliro

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Archbishop Stanley Ntagali avuddeyo nafulumya ekiwandiiko ku mpaka za Miss Curvy Uganda ezatongozeddwa Minisita Kiwanda Godrey nga zigenderera okwoleka abakazi Mungu beyagemulira obutuuliro ng’ekyobulambuzi amakula Yuganda ky’erina.
Ntagali agamba nti ye nga Archbishop wamu n’ekereziya ya Yuganda okutwalira awamu tebasobola kukiriza mpaka nga zino era bazivumirira era bwatyo nasaba aba bonna abaagala okuvugirira ensimbi empaka zino bakisazeemu.
Archbishop agamba nti empaka zino zirinyirira eddembe ly’abakazi wamu n’okutatana ekitiibwa kyabwe kuba ekereziya ekoze omulimu gw’amaanyi okulwanirira ekitiibwa ky’omwana omuwala nga eyita mu by’enjigiriza wamu n’okubakubiriza okwenyigira mu bintu ebizimba eggwanga.
Ono agamba nti kati Gavumenti eyise mu kutumbula kutembeeya bakazi okusobola okukuza obulambuzi mu Ggwanga nti era kino kyoleka eggwanga Yuganda nga bweriserebye mu by’empisa okutuuka awo.

Share.

Leave A Reply