Ssemaka akubiddwa amasanyalaze negamutirawo. Ekikangabwa kino kigudde ku kyalo Busei central Nakalama.

Afudde y’e Kabaale Ayub Jonga.
Kigambibwa nti amasanyalaze gano gasoose kukuba omuvubuka ayitibwa Masala ono nebamutaasa nasimatuka okufa nebamuddusa mu ddwaliro ly’e Iganga.
Amasanyalaze okutta Ssemaka ono yabadde agezaako okunnyonyola engeri amasanyalaze gyegakutemu omuvubuka kwekugenda awali waya okugezesa nga bwebibade kyoka nga yerabide nti amasanyalaze kwegali bweyakutte ku waya zino negamukuba negamuttirawo.

Menu