Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kwaguddwawo e Bukoto ku Simba ate kwabwereere. News: IGG agudde emisango ku Chris Obore ne banne abalala 6 era nasaba basindikubwe mu Kkooti Enkulu bavunaanibwe emisango egyekuusa ku bukenuzi News: Awali Omukka-Ssewandagi-Balaam okuswaza Nameere Omuganda ogenderera ki? Obikola eno ate e Bunyoro?
ON NOW Tokammalirawo ▶ UP NEXT Mukulikeeyo 4:00 PM - 6:00 PM
Now Playing · 320 listening Simba FM Live
tokammalirawo show photo

On Air

Tokammalirawo

Sureman Segawa

2:00 PM - 4:00 PM 2:00 PM - 4:00 PM

3 baluguzeemu obulamu ku lunaku lw’abajulizi, mubaddemu n’owoolubuto – Police

June 5, 2017 · Mubiru Ali

Police egamba nti ebikujjuko ebyabaddewo eby’okujjukira abajulizi ba Yuganda ebyabaddewo ku biggwa by’abajulizi e Namugongo,  abantu basatu be baaluguzeemu obulamu era nga muno mwabaddemu n’omukazi ow’olubuto. 

Amyuka Omwogezi wa Police mu ggwanga Polly Namaye,  ategeezezza Luboggola Simba nti omu ku baafiiridde mu nnaku zino yabadde atuuse mu bitundu eby’ e Matugga ng’ava e Lira mu bukiika kkono bwa Yuganda ate omulala n’afiira e Mukono songa owookusatu ye yagonose wakati mu kusinza e Namugongo .

Namaye agamba nti Waliwo n’abantu abali mu 150 abateeberezebwa okuba abamenyi b’amateeka abali ku kaduukulu ka Police e Kira nga bano beenyigidde mu kubba ensawo z’abantu,  obusimu,  okusaasaanya ebicupuli n’emisango emirala.