Amaggye ne Poliisi muve mu maka ga Bobi Wine mbagirawo – Kkooti

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Kkooti ewadde ensala yaayo ku kusaba okwateereddwayo Bannamateeka ba Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine ne Mukyala we Barbie Kyagulanyi okubeera nga basibirwa awaka mu ngeri emenya amateeka.
Omumyuuka w’omuwandiisi owa Kkooti Enkulu mu Kampala Jameson Karemani yasomye ensala y’Omulamuzi Micheal Elubu olwokuba nti ate yakuliddemu okuwozesa Jamilu Mukulu n’abalamuzi abalala babiri nga kutandise mu kkomera e Luzira.
Omulamuzi alagidde Barbie addizibwe eddembe lye mubunnambiro eryokutambula kuba Ssabawolereza wa Gavumenti yakiraga nti okutambula kwono tekulina bwekuyimirizibwa mu ngeri yonna.
Ku Kyagulanyi omulamuzi ategeezezza nti ono takuumirwa mu kifo kyonna kyasibwawo mu mateeka kuggalirwamu muntu azizza omusango wabula mu maka ge. Kkooti ekizudde nti wano abebyokwerinda balinyirira eddembe lye lyetasaanye kuyingiramu nga yerimbise mukumukwata okumuziyiza okukola omusango nga bagamba nti wabulabe eri ebyokwerinda.
Omulamuzi agamba nti Bobi Wine yandibadde yakwatibwa natwalibwa ku Poliisi okusobola okumulemesa okuleetawo okwonoona kw’ebintu n’okufa kw’abantu.
Kkooti egamba nti Uganda Police Force bweba nga erina obujulizi obuluma Kyagulanyi nti yali ayagala kutegeka bwegugungo eyite mu mateeka emukwate era avunaanibwe mu Kkooti.
Omulamuzi era ategeezezza nti Kyagulanyi bwaba alina omusango Poliisi emutwale mu kifo ekiri mu mateeka wabula akirizibwe okulaba omusawo we ne Bannamateeka be.
Omulamuzi alagidde Kyagulanyi ne barbie baweebwe eddembe lyabwe eryokwetaaya mbagirawo nti era nabebyokwerinda abasalako amaka gaabwe e Magere mbagirawo.
Omulamuzi alagidde Ssaabawaabi wa Gavumenti asasule Kyagulanyi ne Barbie ssente zabakozesezza okusaayo okusaba kwabwe.
Share.

Leave A Reply