Breaking
News: Anaggulangawo ebbaala nga ssaawa mwenda ezolweggulo tezinnawera kanamujjuutuka – Minisita Balaam News: Okwewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. News: Hon. Emmanuel Rwashande Munnakibiina ki National Resistance Movement
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 445 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Omuvubuka atemyetemye muka kitaawe n’amutta – Ssembabule

July 14, 2017 · Mubiru Ali

Ekikangabwa kigudde ku kyalo Nsangala ekisangibwa mu ggombolola y’e Mateete mu Disitulikiti y’e Ssembabule omuvubuka bwakkakkanye ku muka kitaawe n’amuteemateema.

Nsana Steven ow’emyaka 30 y’akkakkanye ku muka kitaawe Naalongo Nalubega Rose ow’enyaka 45 n’amutemaatema n’oluvannyuma omulambo n’akukumako omuliro neguteta era n’amalamu omusulo nga kigambibwa nti entabwe eva ku butakkaanya ย ku nsonga z’ekibanja.

Police oluvannyuma ezze n’eggyawo omulambo n’egutwala mu ggwanika ly’eddwaliro ly’e Ssembabule nga bwekola okunoonyereza. Lino litusakiddwa Margaret Kayondo .