Amaggye gawambye leediyo ya Gabon

Amaggye mu Ggwanga lya Gabon gawambye Leediyo y’e Ggwanga enkya yaleero nga gemulugunya ku kwogera kw’omukulembeze w’eggwanga eryo Ali Bongo Ondimba nga bategeeza nga bweyali tewa ssuubi yadde.

Bano nga bakulembeddwamu Lieutenant Kelly Ondo Obiang nga yakulira ekibinja ekiyitibwa Patriotic Movement of the Defense and Security Forces of Gabon agamba nti mu kwogera kwa Pulezidenti Bongo kyeyoleka lwatu nga bwatakyalina busobozi bukulembera Ggwanga lino.

Kinajjukirwa nti Pulezidenti Bongo okwogera kwe yakukolera mu kibuga Rabat e Morocco gyali mukufunira obujanjabi oluvannyuma lw’okukubwa stoke nga yagibwa mu ddwaliro e Saudi Arabia.

Bongo ebbanga lyamaze mu ddwaliro mu 2018;

•        October 25 – Bongo yaweebwa ekitanda mu ddwaliro lya King Fahd e Riyadh, Saudi Arabia

•        October 29 – Gavumenti yavaayo nekakasa nga Bongo bwali ku kitanda wabula nerabula abo bonna abafulumya amawulire amafu.

•        October 31 – Omukutu gwa TV e Cameroon gwagalwawo okumala emyezi 6 lwakubika Bongo.

•        November 11 – Bongo akuba ku matu era addamu okutambuza emirimu.

•        November 14 – Oludda oluvuganya lusaba Gavumenti ennyonyole ku bulamu bwa Bongo.

•        November 15 – Kkooti ya Ssemateeka ekiriza Omumyuka wa Pulezidenti Bong okubiriza enkiiko watali.

•        November 21 – Jeune Afrique ategeeza nga Bongo bwakubye ku matu nga ali mu London

•        November 29 – Bongo aggibwa e Saudi Arabia natwalibwa e Morocco okwongera okujanjabwa.

•        December 4 – Ebifaananyi bya Bongo ebyasooka nga ali muddwaliro bifuluma nga Kabaka wa Morocco amukyalidde.

•        December 6 – Abakungu abawaggulu mu Gavumenti bamukyalira mu ddwaliro e Rabat

•        December 10 – Omumyuka w’omukulembeze akakasa nti Bongo yakubwa Stroke.

•        January 1, 2019 – Bongo ayogera eri eggwanga nga asinziira e Rabat

Bongo nga yafuuka omukulembeze w’eggwanga lya Gabon mu 2009 nga mukaseera ako yali Minisita oluvannyuma lwa kitaawe Omar Bongo okufa. Yaddamu nawangula akalulu akataali kangu mu 2016 nafuna ekisanja eky’okubiri nga yawangula Jean Ping eyavaayo nawakanya ebyalangirirwa.

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

🔥🔥🎤🎤Kunene 97.3 Live ku Simba Tubuuza #Busolosolo Ki Bwomanyi Kubanoonya #Abakazi oba Abasajja Abokuwasa Oba Okufumbirwa 😂
#suremanssegawa

🔥🔥🎤🎤Kunene 97.3 Live ku Simba Tubuuza #Busolosolo Ki Bwomanyi Kubanoonya #Abakazi oba Abasajja Abokuwasa Oba Okufumbirwa 😂
#suremanssegawa
...

1 0 instagram icon
Olwaleero mazaalibwa ga Mutabani w'omukulembeze w'Eggwanga era Omduumizi w'Eggye lya UPDF Gen. Muhoozi Kainerugaba. Ono awezezza emyaka 50.

Olwaleero mazaalibwa ga Mutabani w`omukulembeze w`Eggwanga era Omduumizi w`Eggye lya UPDF Gen. Muhoozi Kainerugaba. Ono awezezza emyaka 50. ...

7 0 instagram icon
Olwaleero mazaalibwa ga mukozi munaffe Ssennono Denis aka Commander 1 MC Kalebule Omulebuzi atalebula nebalebula, Omulebuzi w'ekyaasa akola Program Emboozi y'omukafunda. Tukwagaliza olunaku olulungi.

Olwaleero mazaalibwa ga mukozi munaffe Ssennono Denis aka Commander 1 MC Kalebule Omulebuzi atalebula nebalebula, Omulebuzi w`ekyaasa akola Program Emboozi y`omukafunda. Tukwagaliza olunaku olulungi. ...

0 0 instagram icon
Afande embeera emutabuseeko naalajana!

Afande embeera emutabuseeko naalajana! ...

19 1 instagram icon
Sureman Ssegawa yatabye dda ku Luboggola Simba mu Program Tokamalirawo.

Sureman Ssegawa yatabye dda ku Luboggola Simba mu Program Tokamalirawo. ...

7 0 instagram icon