Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 643 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Okugema COVID-19 kutongozebwa lwaleero e Mulago

March 10, 2021 · Mubiru Ali
OKUTONGOZA OKUGEMA COVID-19 KWALEERO;
Enteekateeka zokutongoza okugema Bannayuganda ekirwadde kya COVID-19 kugenda mu maaso wali ku Mulago Specialised Women and Neonatal Hospital. Abantu abagenda okugemebwa olwaleero be basawo okuva mu malwaliro okuli Mulago ne Entebbe general referral hospital.
Wabula oyo yenna agenda okugemebwa alina okuteeka omukono ku kiwandiiko nga akiriza nti yavunaanyizibwa ku ebyo byonna ebimutuukako oluvannyuma lw’okugemebwa okugeza singa eddagala libaako kyerukyuusa ku mubiri ggwe (side effect).
Okugema kugenda kusembezebwa ku buli Disitulikiti nga ebifo awagemerwa byakuteekebwa ku National ne Regional Referral Hospitals, District Hospitals, Health Center IV ne Health Center III. Buli Disitulikiti yakubeera n’ebifo 5 awagemerwa ku malwaliro ago agamenyeddwa.