Akubiddwa essasi mu kivvulu n’akalirawo – Kamuli

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Abantu nga babinuka amasejjere mu bikujjuko bya Ssekukkulu mu kiro ekikeesezza olwaleero ate waliwo omusajja aluguzeemu obulamu e Kamuli mu kibuga oluvannyuma lw'okukubwa essasi ku mutwe n'akalirawo. 

Omusasi waffe obuuyo obwo,  Wannume Ramathan atutegeezezza nti ono okufa entabwe yavudde ku bantu kwekumamu ogutaaka nebatandika okwonoona obutebe n'ebintu ebirala oluvannyuma lw'abyimbi abamu abaalangibwa obutalabikako. 

Wabula mukavuvungano nga Police egezaako okukkakkanya n'okuzza embeera mu nteeko, Omusajja omu atemera mu gy'obukulu 40 nga tannategeerekeka mannya ne gyeyavudde,  n'akubwa essasi ku mutwe obwongo nebuvaayo era n'akalirawo. 

Kitalo!  Omulambo guli mu ddwaliro ekkulu e Kamuli. 

Share.

Leave A Reply