Abawagizi bange batulugunyizibwa – Bobi Wine

Pinterest LinkedIn Tumblr +
SIPIIKA ABAWAGIZI BANGE BATULUGUNYIZIBWA;
Hon. Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine; “Nnyabo Sipiika, njogera mu Palamenti omulundi gwange ogusoose oluvannyuma lwakalulu ka 14-January akobwa Pulezidenti omwali okubba obululu okutalabwangako. Okunoonya akalulu kwalimu okutulugunya n’efujjo nga likumwamu ebitongole byebyokwerinda. Ebitongole bya Gavumenti byakkakanyizibwa kati bikolera biruubirirwa bya muntu omu mu kifo kyokukolera Bannayuganda. Abawagizi baffe bangi battibwa, abalala balemala ate abalala balina ebisago ebizibu ennyo. Bino byaliwo mu kunoonya akalulu, mu kulonda wamu n’oluvannyuma lw’okulonda.” #PlenaryUg
Share.

Leave A Reply