Akubiddwa amasasi mu kikwekweto ky’ababbi n’afiirawo – Kisenyi

Waliwo omusajja akubiddwa amasasi mu kisenyi n’afiirawo nga ye Lukenge Asuman  . Akubiddwa omuserikale wa Police ataatuukiriddwa mannya  police bwebabadde ekola ekikwekweto ky’okukwata ababbi mu Kisenyi ekiri ku Blue Room ku luguudo lwa Kafumbe Mukasa.

Bw’abadde ayogerako ne Bannamawulire ku CPS mu Kampala, Omwogezi wa Police Emirian Kayima abgamba nti Ofiisa wa Police akoze kino wetwogerera kati nga agombeddwamu obwala era nga atemeza mabega wa mitayimbwa , wabula Police egaanye okwatuukiriza erinnya lya Ofiisa wa Police eno ng’entya nti oba oli awo abantu ba bulijjo  bandikola obulumbaganyi ku Police eno .

Kayima agamba nti Police ekolera wamu n’ab’oluganda lw’omugenzi okulaba nga bakola ku by’okuziika omubiri gw’omugenzi . Kitalo !

 

 

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

Throwback 🤟🤟🤟🎤🎤🔥Enyimba Eziyiseeko Emyaka #Wali luddawa Ebiseera Ebyo Mwanatu Twegatteko Live Ku 97.3 #RadioSimba Kati Kati 
#OldiesAreGoodies
Sureman Ssegawa

Throwback 🤟🤟🤟🎤🎤🔥Enyimba Eziyiseeko Emyaka #Wali luddawa Ebiseera Ebyo Mwanatu Twegatteko Live Ku 97.3 #RadioSimba Kati Kati
#OldiesAreGoodies
Sureman Ssegawa
...

3 0 instagram icon
Daniel Oketch 37 Ddreeva wa loole egwiridde emotoka ya buyonjo netta Munnamateeka Okoit Rapheal olwaleero Uganda Police Force emukutte nemuggalira ku Poliisi Entebe. Ono aguddwako omusango gwokuvugisa ekimama.

Daniel Oketch 37 Ddreeva wa loole egwiridde emotoka ya buyonjo netta Munnamateeka Okoit Rapheal olwaleero Uganda Police Force emukutte nemuggalira ku Poliisi Entebe. Ono aguddwako omusango gwokuvugisa ekimama. ...

69 4 instagram icon