Radio Simba – Ennene

Kampala 97.3 FM Mubende 92.1 FM

Agamba nti yakubwa omusumaali mu kamwa alemeddwa okulaga obukakafu

Omuwagizi w’ekibiina kya National Resistance Movement – NRM ne Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni eyalabikidde mu bifaananyi nga akubiddwa omusumaali mu kamwa nga agamba nti bamulumbye nga bamulanga olw’okuba yabadde atambula akuba oluyimba lwa Kadongo kamu nga luwaana NRM.
Katooga aka Ambassador wa Yesu agamba nti yalumbibwa abantu abatategeerekeka ku bbalaza ekiro.
Okusinziira ku mwogezi wa Poliisi mu ttundutundu lya Elgon Tukei Robert, agamba nti Katooga tabadde nawazimbye wonna era yalemereddwa okuleeta essaati gyeyali ayambadde ekiro lweyalumbibwa.
Ssentebe wa NRM e Mbale Mahamood Masaba avuddeyo nategeeza nti ono si muwagizi wa kibiina kya NRM era nga bakoze okunoonyereza nga teri Munnaklibiina yakubiddwa mu Mbale.
Ye RDC w’e Mbale Sulaimani Barassa Ogajjo ategeezezza nti ono yafumbye okukubwa kwe nga ayagala Pulezidenti Museveni amuwe Ssente.
Ye Omusawo wa Poliisi Dr. Rubanza agamba nti yamwekebezze bulungi namusangoko enkovu entono ku ttama.

Leave a Reply

eskort escort mersin kahramanmaraş escort niğde escort