ACP Muleterwa weguza otya emotoka eyali enoonyezebwa nga yabbibwa – Justice Mugambe

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Omusirikale wa Uganda Police Force ACP Anatoli Muleterwa aweereddwa engasi ya bukadde 50 olw’okuteeka emotoka eyabbibwa ku kutundibwa ku nnyondo nagiguza mukyala we Margaret Kizza akakadde kamu so nga yali ebalirirwamu obukadde 12. Muleterwa yakulira Community Policing Department.
Omulamuzi Lydia Mugambe owa Kkooti enkulu mu Kampala bweyabadde awa ensala ye yagambye okuteeka emotoka ekika kya pick-up ku Nissan Datsun nnamba UAE 130H nnyondo mu kadde keyali enoonyezebwa nga yabibbwa nga ate naye akimanyiiko kyali kikyamu. Emotoka eyogerwako yabbibwa okuva ku University e Makerere ku Main Library mu November 14, 2008 netundibwa mu December 2009.
Wabula oluvannyuma nnyini yo yagisanga mu Kisenyi mu Kampala nga April 26, 2010 nga epangisibwa okusomba ebintu. Emotoka eno yali ya Mukyala Adrine Kemirembe wabula nga yabbibwa ku bbaawe Alex Ssebagala.
ACP Muleterwa yalagiddwa okusasula obukadde 50 oba okusibwa. Kemirembe kkooti yamuliyiridde obukadde 150 olw’obudde n’ensimbi zasasanyizza ku musango wamu n’obukadde 120 obusuubirwa okuba nga bwandivudde mu motoka eno nga ekola.

Share.

Leave A Reply