Ab’oludda oluvuganya Gavumenti bazeeyo mu Palamenti

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Ab'oludda oluvuganya Gavumenti leero lwebazzeeyo  mu butongole mu lukiiko lw'eggwanga olukulu oluvannyuma lw'emyezi ebiri egiyiseewo nga batulugunyiziddwa wamu n'okufulumizibwa Palamenti ku kifuba amagye agakuuma Pulezidenti . 

Ababaka bano nga bakulemberwamu akulira ab'oludda oluvuganya Gavumenti, Winnie Kiiza , bagamba nti balindiridde akaseera Sipiika kaagenda okubawa boogere ku byaliwo mu Palamenti nga akasambattuko k'ava ku bbago ly'etteeka erijjawo ekkomo ku myaka gya Pulezidenti .

 

 

Share.

Leave A Reply