Ab’e Lusanja twabasengula mu mateeka – Lawyer

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Abasengula abantu ku ttaka ly’e Lusanja wamu n’okukoona amayumba balumiriza abaasenguddwa okubeefulira ng’ate bonna abaasangibwako abatuufu baabasasula.
Looya w’omugagga Medard Kiconco ayitiibwa George Muhangi, owa Kafeero And Co. Advocates yategeezezza nti okusengula abantu bano ku ttaka lino mu  Lusanja baayise mu buli mutendera omutuufu gwonna.
“Ku ttaka lino erya yiika ekkumi [10] lye twagula mu 2014 okuva ku Paul Bitarabeho nga buli yiika twagigula obukadde 250, twasangako abasenze 16 bokka. Era Bitarabeho yali yabatwala mu kkooti ng’abavunaana okwesenza ku ttaka lye mu bukyamu.
Wabula ffe bwe twaligula ne tugenda mu kkooti ne tusaba tutegeeragane nabo wabweru waayo era ne tubasasula nga buli muntu tumuwa ssente okusinzira ku bugazi bw’ekibanja kye n’ennyumba ye.
Era ne ku bano kwaliko Pasita Samuel Mayanja gwe twasasula obukadde 75, wabula bwe twali tusasula abantu bano buli muntu gwe twawanga ssente nga tusooka kumuwaako kitundu n’amenyawo ennyumba ne tumumalayo wabula Pasita Mayanja yatusaba tumuwe ssente ze zonna obukadde 75, omulundi gumu.
Zino twazimuwa naye twamusaba abeeko ky’atusingira era n’atusingira ekyapa kye eky’ettaka eddala era n’okutuusa kati tukirina wabula yamala n’agaana okwamuka ettaka ye ne banne abalala babiri era ne baddamu ne batunda ne balyoka basenguka.

Share.

Leave A Reply