Ab’e Bembe mu Wakiso basimbye ebitooke mu kubo

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Abatuuze mu Disitulikiti y’e Wakiso nga bakulemberwamu Bashir Ssimbwa basimbye ebitooke mu binnya ebiri mu luguudo lwa Jembe-Luwano-Mpatta-Bbembe-Buwalula nga akabonero akalaga obutali bumativu bwabwe ku mbeera oluguudo lwabwe gyerulimu. Bino babikoze nga Ssentebe wa Disitulikiti eno owa LC5 Munnakibiina kya National Unity Platform Matia Lwanga Bwanika ateekateeka okukyala e Bembe gyagenda okulaga ani anakwatira ekibiina kya NUP bendera ku kifo kya Ssentebe wa LC ow’eggombolola y’e Namayumba ngeno akalulu kagenda kuddibwamu.

Share.

Leave A Reply