Abavunaanibwa ogw’okutta Abayisiraamu ogw’obutemu baguwuuse buva

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Abantu 14 ababadde bavunaanibwa ogwokutta Abayisiraamu mu ggwanga,  kkooti ebejjeerezza omusango gw’okutta bayisiraamu bannaabwe. 

Bano baakwatibwa nebavunaanibwa ogw’okutta abakulembeze b’ababayisiraamu ba maseeka omuli Sheikh Hassan Kirya,  Sheikh Bahiga wamu n’abalala era omusango guno guludde nga guwulirizibwa.

Wabula akawungeezi akayise kkooti enkulu mu Kampala bwebadde ewa ensala yaayo egambye nti tefunye bujulizi bumala obulimu ekinyusi okukakasa nti bano beebatta kubanga abaatemula baali ku Pikipiki tebakwatibwanga songa n’emmundu zebaakozesa mu ttemu lino nazo tezikwatibwanga.

Wabula ku bano kuliko mukaaga abasingisiddwa emisango gy’obutujju nga kubano kuliko eyali akulira ekiwayi ky’abatabbuliiki, Sheikh Muhammad Yunus Kamoga n’abalala era leero lwebakomezebwawo mu kkooti okusalirwa ekibonerezo.

Share.

Leave A Reply