Breaking
News: Gaagano amawanga gabantu nga go gasinga kwagala basajja baavu okuwasa bawala baabwe kuba abasajja abaavu balina kye babafunamu ekinene ennyo. News: Gasimbagane-Rwomushana-Buli yegaanye nti tamanyi Muwanga gyali Kati yavuddewa? Yeyetutte ku Poliisi? News: Ku Mutoto Cultural Centre batongozza okusala Imbalu omwaka guno nga kino kyakukolebwa okutuusa December.
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 257 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM
News

Ababaka abebuzaabuza ku nsonga enkulu mubajjukiranga mu kiseera kya kalulu – Sarah Opendi

June 1, 2024 · Mubiru Ali

Omubaka omukyala owa Disitulikiti y’e Tororo Sarah Opendi avuddeyo nategeeza nti awulidde Ababaka abamu abagamba nti ensonga yaba Kkamisona abegemulira ensimbi ezisoba mu kawumbi kamu bandizikutte mu kyaama, era ngono yebuuza lwaki? Ono asabye Bannayuganda okutunula nnyo ekaliriza ku Babaka baabwe abebuzaabuza ku nsonga nga n’abalala babagamba okuva ku kyokuggya obwesige mu bantu bano kuba balina ebigendererwa ebyabwe. Ono agamba nti ba Kkamisona bano nekisooka balondebwa mu ngeri yakifuula nnenge nga balina kukubwako kalulu so ssi kusonga ku muntu naweebwa offiisi.
Ono era alumirizza Hon. Wilfred Niwagaba (Shadow Attorney General) olwokweyisa nga omuccuba bweyagenze nasaba obujjulizi bwebakungaanyizza okuleeta ekiteeso kino. Ono asabye Bannayuganda okwetegereza ennyo Ababaka nga bano bwebakomawo okubasaba akalulu.