Abasoga mulunde ku nkoko n’embizzi – Ssaabaminisita Nabbanja

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Ssaabaminisita wa Yuganda Rt. Hon. Robinah Nabbanja awaddeyo ensimbi obukadde 20 mu mpeke eri okumaliriza okuzimba eddwaliro lya Nakajo Health Centre erisangibwa mu Kagoma North, mu Disitulikiti y’e Jinja.
Ono yayitiddwa Ababaka Brandon Kintu Alex n’omubaka omukyala owa Disitulikiti y’e Jinja Loy Katali, Nabbanja asabye Abasoga okwegattira awamu beyambise ettaka eggimu lyebalina okwenyigira mu bintu ebivaamu ensimbi ng’okulima ebikajjo.
Bwabadde ayanukula ku nsonga y’ebbeeyi y’ebikajjo, asabye Abasoga okwenyigira mu mirimu emirala egivaamu ensimbi ng’okulunda enkoko n’embizzi ebyetaaga ettono ennyo. Ensimbi ezisoba mu bukadde 100 zizikuŋŋaziddwa.
Share.

Leave A Reply