abanyarwanda mwesonyiwe yuganda – Kagame

Omukulembeze wa Rwanda Paul Kagame avuddeyo nategeeza nti byayiseemu bingi mu nsi era nga bino byakuyiga gyaali era nga talina buyinza ku muntu kyamulowozaako wabula alina obuyinza ku kirina okubaawo mu Rwanda.

Ono agamba nti bayinza okukola ekibi kyonna kyebaagala nga okuteekawo abayekera, oba okumukuba amasasi naye nti waliwo ekintu kimu ekitasoboka kubaawo ye okufuukamirira omuntu yenna.

Kagame era yayogedde ku mbeera eriwo wakati wa Yuganda ne Rwanda nategeeza nti amagezi gokka gasobola okuwa Bannansi ba Rwanda kwekwesonyiwa okugenda mu Yuganda.

Ono agamba nti Bannasi be bangi batulugunyizibwa mu makomera ge Yuganda bangi nebatuuka n’okufa. Bino yabyogeredde mu lukungaana olwabadde mu Rwanda Defence Force Combat Training Centre e Gabiro, mu Disitulikiti y’e Gatsibo.

Kagame mu kwanukula ebigambo bya Pulezidenti Museveni byeyayogedde bweyabadde omugunyi omukulu mukujaguza olunaku lw’abakyala e Bunyangabu nategeeza nti tewali muntu yenna asobola kutabangula Yuganda, Kagame yagambye nti; “Bwowulira omuntu nga agamba nti tewali muntu yenna asobola kutabangula ggwanga lye nzikiriziganya naye. Tewali muntu n’omu alina kutabangula ggwanga eryo, naye nalyo lireme kutabangula amawanga amalala, ndowooza eyo yerina okubeera enkola esinga.”

0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply