Mubaleete mu kkooti n’obujulizi obutuufu – Owek. Mayiga

Kattikiro wa Buganda Owe. Charles Peter Mayiga avuddeyo nasaba Gavumenti okuleeta Hon. Francis Zaake wamu ne Hon. Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) wamu n’abalala abakwatibwa mu Arua okubaleeta mu Kkooti z’amateeka ezimanyiddwa nti zirina obusobozi obuwozesa abantu n’obujulizi obutabuusibwabusibwa era babawozese ku misango egyo gyennyini gyebazizza.

Agambye nti amawulire galaga nti Hon. Zaake ne Hon. Kyagulanyi batulugunyiziddwa ebitagambika nga bali mu budukulu bw’ebitongole ebikuuma ddembe. Bwatyo nakubiriza ebitongole ebikuuma ddembe okwewala okutulugunya abantu, era bifube nnyo okussa n’okuwa ekitiibwa eddembe ly’obuntu.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Eyali omubuka wa Nansana Municipality Wakayima asimatuse ekkomera