Abantu balina okumanya enteekateeka za Gavumenti – Minisita Tumwebaze

Gavumenti erabudde abamu ku bakozi ba Gavumenti abafuuka ba kyesirikidde newabulawo ayinza okunnyonnyola abantu ku nteekateeka Gavumenti z’ekoze wamu n’ezo zeyaakatuukako ezitali zimu okugasa bannansi.

Bino byonna Minisita avunaanyizibwa ku by’amawulire, empuliziganya ne Tekinologiya ow’ekikugu Frank Tumwebaze yabitegeezezza omusasi wa Luboggola Simba nga agamba nti Having etadde enteekateeka ezitali zimu mu bitundu by’egwanga ebyenjawulo naye ekimwewuunyisa be bakozi ba Gavumenti okusirika obusirisi nebatannyonnyola bantu kiki kiriwo.

‘Bwoba olina by’okola ebya bannayuganda obikweka, tugenda kuteekawo buli mwezi National Bbalaza, tuleete buli Minisitule n’ebitongole byayo byebakola amawulire gabifune abantu babimanye ” Minisita Frank Tumwebaze bw’ayogera.

Leave a Reply