Breaking
News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki? News: Gen. Kahinda Otafiire Lwakiri nfiira ku magulu nga nnwana okusinga okuwangaalira ku maviivi gange nga nsaabiriza….
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 150 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM
News

Besigye yalemererwa okulaga obukakafu nti ssente zaava mu State House – Dr. Nabwiso

August 9, 2023 · Mubiru Ali

Dr. Frank Nabwiso avuddeyo nanenya Ssaabawandiisi wa Forum for Democratic Change Nathan Nandala – Mafabi okutwala ssente z’ekibiina naaziteresa Kizza Besigye ng’alinga agamba nti omuwanika w’ekibiina taliiwo kyavumiridde nti kyali kikyamu. Nabwiso ayongerako nti; “Dr. Kizza Besigye yalemererwa okutulaga obukakafu okutumatiza nti ddala ssente zaava mu State House. Kituufu Hon. Patrick Oboi Amuriat yakiriza nti yafuna ssente obukadde 280 okuva ewa Nathan Nandala – Mafabi okuzeyambisa mukunoonya akalulu k’obwa Pulezidenti. Mafabi yakirizibwa okwewolera ekibiina ssente era nakituukiriza. Kituufu nti ssente Nathan Nandala – Mafabi zeyatwalira Dr. Kizza Besigye si ze ssente zezimu Besigye zeyadduza Forum for Democratic Change – FDC.” Dr. Frank Nabwiso asabye Dr. Kizza Besigye okwewala okukozesebwa ekinaaletera erinya lye lyeyazimba okwononeka saako nebyo byeyakakolera ekibiina kya Forum for Democratic Change – FDC.