Abantu 6 basindikiddwa mu Kkooti y’Amaggye e Makindye

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Akakiiko k’eggye ly’eggwanga Uganda Peoples’ Defence Forces – UPDF akakwasisa empisa aka Unit Disciplinary Committee (UDC) akatudde ku kitebe kya Chieftaincy of Military Intelligence – CMI e Mbuya esindise abantu ababulijjo 5 wamu n’omusirikale omu mu Kkooti y’amaggye e Makindye bavunaanibwe.Col. Tom Kabuye Ssentebe wa UDC bwabadde asoma emisango gino agambye nti Erepu Joakim yasangibwa n’ebyaama by’amaggye nga abirina ku CD wamu ne ku Laptop ye. Ate Okei ne Omera bbo basangibwa n’emmundu wamu n’ebintu by’amaggye ebirala byebafuna mu bukyaamu.Nnyanzi Allan nga mutuuze w’e Salaama Zikusooka ye yasangibwa ayambadde Yunifoomu y’amaggye nga yefudde omusirikale wa UPDF.Ssentongo Rogers naye yasangibwa n’ebintu by’amaggye omuli ebyambalo, engatto, jacket wamu n’ensawo.L/CPL Orono ye wakuvunaanibwa gwabutemu, ono avunaanibwa kutta Sserwadda Simon ow’e Kazo mu Kawempe Division.Col Tom Kabuye bwabadde awa ensala ye ategeezezza nga bwebatagenda kuddamu kukiriza bikolobero bikolebwa bantu bambadde byambalo by’amaggye.

Share.

Leave A Reply