Abantu 150 basulirira kusendebwa ku ttaka e Lwengo

Abantu abasoba mu 150 mu ggombolola y’e Ndagwe mu Disitulikiti y’e Lwengo be boolekedde okugobwa ku ttaka olwa bannaddiini be bayise ba ‘Bbulaaza’ abagambibwa okwekobaana n’akulira Poliisi y’e Ndeeba, Micheal Nanywa Mwema kw’ossa n’akulira eby’ettaka ku Disitulikiti, Livingstone Ssenyomo ne balibagobako nga bakozesa eryanyi.
Bano nga bava ku byalo bitaano okuli Gayaaza, Kakindu, Kibinge – Kito, Kabingo ne Kijjwala be bali mu kattu olw’obukwakkulizo obwabaweereddwa okwamuka ettaka lino kw’ossa n’okuggala enzizi zonna kwe babadde basena amazzi agalabirira amaka gabwe n’ebisolo byabwe.
Ekisinze okubeewuunyisa be bannaddiini bano okupunta ettaka lyabwe amatumbibudde nga bayambibwako omuserikale OC Mwema ng’akaalakaala n’emmundu era mu kusooka bwe baamuloopera ba bbulaaza bano yeerema okutunula mu nsonga zaabwe.
Bagamba nti n’akulira ebyettaka mu Lwengo, Livingstone Ssenyomo agambibwa nti ye yafunira ba Bbulaaza bano ebiwandiiko by’ettaka ebicupule era n’apeekanga abatuuze okumuwa ensimbi ze bagambye nti ziri mu bukadde.
Abatuuze baalumirizza abantu bano ng’ekyapa kwe babasengula bwe kitankanibwa ne basaba Pulezidenti Museveni ayingire mu nsonga zino.
Omubaka w’ekitundu kya Bukoto Midwest, Joseph Muyomba Kasozi yasitukiddemu bukubirire okutaasa abatuuze n’abayimiriza obutava ku ttaka lino okutuusa nga bamaze okwetegereza ekyapa kya ba bbulaaza oba kiri mu mateeka. Omubaka Kasozi yalagidde Oc Mwema ne munne Ssenyomo okutegeeza abatuuze ekituufu kyokka ne bagamba nti abatuuze babawaayira kuba kyali kibakwatako okuwerekera ba bbulaaza bano okupunta ettaka awamu n’okubawa obukuumi.
Kasozi abalagidde obutadamu kusaalimbira ku ttaka lino yadde okulabikako mu kitundu kino okutuusa nga bafunye ekyenkomeredde mu kakiiko k’ettaka e Masaka. Yagumizza abatuuze nti bwe kinaazuulibwa ng’ekyapa kya babbulaaza bano kituufu era si baakugobwa ku ttaka baakuyita mu nkola ey’okusasula Landiroodi obusuulu.
Amyuka RDC w’e Lwengo, Mariam Sseguya asabye abatuuze okubaloopera abantu abanAasalimbira ku ttaka lino era n’abasaba obutatwalira mateeka mu ngalo.

0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply