Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 177 listening Simba FM Live

EC erabudde NUP ku kyalangi emyuufu

August 3, 2020 · Mubiru Ali
Ssentebe w’Akakiiko k’ebyokulonda Electoral Commission Uganda Justice Simon Byabakama, avuddeyo nalabula ab’ekibiina kya National Unity Platform ekikulemberwa Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine kukyokukozesa langi emyuufu nga langi y’ekibiina enkulu.
Omulamuzi Byabakama agamba nti NUP yali esabye Akakiiko okubakiriza bakozese langi emyuufu nga yesinga wabula nekitakirizibwa olw’okuba nti ekibiina kya Uganda Peoples Congress – UPC kyali kyekwata langi eno.
Ye Omwogezi wa NUP Joel Ssenyonyi agamba nti tewali kwefuga langi, nategeeza nti langi za NUP myuufu, enjeru ne navy blue wabula ekibiina kyasalawo kukozesa langi emyuufu nga yesinga.