Radio Simba – Ennene

Broadcasting from Kampala on 97.3 FM

Abakyala balumbye eddwaliro lya IHK nga balinenya olw'obulagajjavu bw'abasawo ekyaviirako munaabwe Nuriat Nambaziira okufa

Posted: May 16, 2018
Category: Latest News

Emirimu ku ddwaliro lya International Hospital Kampala (IHK) e Namuwongo gisanyaladde okumala essaawa eziwerako abakyala abegattira mu bibiina ebirwanirizi by’eddembe okuli ekya East African Sub-Regional Initiative(EASSI) ne Centre for Human Rights in Development(CEHURD)  nga bekalakaasa nga bagamba obulagajjavu bw’abasawo bwe bwaviirako munnaabwe Nuliat Nambaziira okufa.

Ssemuju nga ono ye mwami w'omugenze Nuliat agamba nti balongoosa mukazi we emirundi ebiri ate ne bamulekamu tawulo mbu zimunwyeemu omusaayi gw’ebaamusangamu ate oluvannyuma bamusale ogw'okusatu bamuggyemu tawulo kye kyamuviirako okufa, ono ayongerako  nti bano ekigendererwa kyabwe kyali kya ssente so ssi kutaasa bulamu kuba buli kimu baakikola nga  mu bwangu nga tebamaze nakwekkaanya mukazi we engeri gyeyalinga azaalamu okukkakkana nga bamulesezza ebuggye ate ne batusaba obukadde 9 mu emitwalo 6o mu nnaku ebbiri zokka zetwamalayo.

Nambaziira eyali akola nga ow’ebyamawulire mu kitongole kya EASSI yafa nga 4/May/2018 oluvannyuma lw’okulongoosebwamu omwana.

Hey, like this? Why not share it with a buddy?

Leave a Reply

ON AIR

  • MUKULIKEEYO
    with Radio Simba
    Thursday, 4:00 pm - 6:00 pm
    Our evening drive show, featuring the best in humor, music, fun and entertainment. Listen as you smile and laugh as you head home. Hosted by Kakos Lubuto Kyooto with Kajabuzi Ssabakaaki. x

Related Posts

eskort escort mersin kahramanmaraş escort niğde escort