Abakungu ba OPM 4 bateereddwa ku kakalu ka Kkooti

Kkooti ya Buganda Road olunaku olwaleero etadde abakungu 4 okuva mu offiisi ya Ssaabaminisita ku kakalu kaayo. Bano kuliko omuwandiisi w’enkalakalira Christine Guwatudde Kintu, Under Secretary Joel Wanjala, Martin Owor ne Henry Lutimba Kyeyune nga bano bavunaanibwa omusango kwokulinyissa emiwendo gy’emmere eyali eyokugabibwa mu kiseera kino ekya #COVID-19 ‘lockdown’.Bano basindikibwa ku alimanda omwezi oguwedde mu kkomera e Kigo ne Kitalya era nga leero babadde bakudda mu kkooti wabula olutuula luno lubadde ku video conferencing. Omulamuzi w’eddaala erisooka Doreen Kalungi yabayimbudde ku ku kakalu ka Kkooti nga buli omu awaddeyo obukadde 3 wamu n’ababeyimirira era bakudda mu kkooti nga 4-June-2020 ne ppaasipooti zaabwe buli omu.Bbo ababeyimiridde basabiddwa obukadde 20 buli omu ezitali zabuliwo nga kuno kubaddeko eyaliko Vice Chancellor wa Makerere University Prof. Ddumba Ssentamu n’ababaka Jacob Oboth ne Mariam Naigaga.

0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply