Abakristu beetabye mu kusaba kwokwebaza Katonda olwobulamu bwa Kabaka
Mu kkanisa y’Omutukuvu Pawulo e Namirembe leero, Abakristu beetabye mu kusaba kw’okwebaza Katonda olw’obulamu bw’awadde Nnyinimu Ronald Muwenda Mutebi II okulamula Obuganda kati emyaka 32.
Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Owek. Patrick Luwaga Mugumbule y’atuusizza obubaka bw’Obwakabaka eri Abakristu, era mu buno, Katikkiro Charles Peter Mayiga yebazizza Obuganda olw’essala n’omukwano bye balaze eri Beene mu bbanga lino.
Dean wa Lutikko Rt. Rev. Danstan Kiwanuka Mazinga yebaziza nnyo Obwakabaka okusenza bannaddiini n’okukulemberamu omulimu ogw’ettendo oguleseewo enkyukakyuka mu bantu mu ggwanga lyonna.

