Abakiikirira abaliko obulemu mu Palamenti balayiziddwa

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Abantu babiri abaalondebwa okukiikirira abantu abaliko obulemu mu lukiiko olukulu olw’eggwanga omuli William Nokrach ng’ono akiikirira abaliko obulemu mu bukiika kkono obwa Yuganda ne Hood Katuramu akiikirira abava mu kitundu eky’obuvanjuba bwa Yuganda akawungeezi ka leero lwebalayiziddwa ku bubaka obwa Palamenti.

Kinajjukirwa nti mu mwezi oguyise, ¬†kkooti yasazaamu okulondebwa kw’abantu bano ababiri ku bubaka obwa Palamenti ng’egamba nti waliwo emivuyo mingi egy’etobeka mu by’okulonda nebivaako vvulugu atakkirizika.

Bano baddayo mu kalulu era nebalondebwa era nga okulayira kwabwe kukubiriziddwa Clerk wa Palamenti Jane Kibirige ng’ali wamu ne Sipiika wa Palamenti, Rebecca Alitwala Kadaga.

Share.

Leave A Reply