Radio Simba – Ennene

Kampala 97.3 FM Mubende 92.1 FM

Abajulizi abalaba Ziggy Wine nga aggwa ku kabenje batwaliddwa mu State House

Abantu 7 okuli n’omukyala abajulidde ku ngeri Micheal Arinda aka Ziggy Wine gyeyafuddemu bakunyiziddwa ab’ebyokwerinda okuva mu maka g’omukulembeze w’eggwanga e Nakasero mu Kampala.
Poliisi egamba nti Ziggy Wine yafudde olw’obuvune bweyafuna oluvannyuma lw’okufuna akabenje ku luguudo lwa Northern Bypass nga 21-July ku ssaawa emu ey’ekiro wakati wa Kyebando – Kisalosalo.
Mu kusooka kyagambibwa nti ono yawambibwa natulugunyizibwa olw’okuba Munnakisindde kya People Power – Uganda eky’omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine.
Wabula omwogezi wa Poliisi Fred Enanga yavaayo ku lunaku olw’okubiri naleeta abajulizi 7 okuli; Amos Turyamureeba, Simon Kule Aheebwa, Dirisa Byaruhanga, Musoy Wekesa, Brian Musobozi, Sarah Kobisngye ne David Kimbowa n’omukyala agambibwa okutomerwa Loy Atworo okwongera okunnyonyola ekyaliwo.
Bano basoose kutwalibwa ku Poliisi ya Kira Road wabula oluvannyuma nekisalibwawo batwalibwe e Kibuli ku kitebe kya Criminal Investigations Directorate (CID) wabula mu kubo ebiragiro byakyuuse nebatwalibwa mu State House e Nakasero oluvannyuma lw’okufuna akasimu okuva eri omuntu atategerekese.
Bano bagamba nti nga bali e Nakasero bakunyiziddwa omu ku omu ku biki ebyaliwo era byebalaba okuva eri abebyokwerinda era oluvannyuma baziddwayo awaka omu ku omu. Bano bagamba nti babuziddwa oba nga ddala byebabadde boogera bituufu nti byebyatuuka ku Ziggy Wine.
Omu ku bbo yatageezezza nti obwedda buli kyayogera bakikwata ku katambi era nga ne sitatimenti zebakoze ku Poliisi ya Kira Road nazo bazireese okuzigerageranya.

Leave a Reply

eskort escort mersin kahramanmaraş escort niğde escort