Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 567 listening Simba FM Live

Abagambibwa okubba ettaka lya Pulezidenti basindikiddwa e Ssentema

July 7, 2020 · Mubiru Ali
Abantu basatu abavunaanibwa okubba ettaka lya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni balabiseeko mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka owa Kkooti y’e Mpigi nebavunaanibwa omusango gw’okufuna ettaka mu lukujjukujju okuva ku ttaka lya ffaamu ya Pulezidenti erisangibwa mu Disitulikiti y’e Gomba.
Bano kuliko: Sseggane Peter, Ssuuna Jimmy ne Cartographer mu Ministry of Lands,Housing and Urban Development Avola Kennedy. Bano basindikiddwa mu Kkomera e Ssentema okutuusa nga 28-7-2020.