Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 202 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Ababba ssente z’enguudo muwedde – Gen. Katumba Wamala

May 9, 2019 · Mubiru Ali

Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku byenguudo Gen. Katumba Wamala akakasizza Eggwanga nga ababadde benyigira mukubulankanya ensimbi z’enguudo nga bwebatuuliddwa ku nfeete era nga kati enguudo nyingi zigenda kukolebwa okwetoloola Eggwanga lyonna. Okwogera bino asinzidde mu Gombolola y’e Kitimbwa mu Disitulikiti y’e Kayunga bwabadde nga atongoza okukola oluguudo oluva mu maduuka g’e Kyerima okutuuka e Lukonda mu Gombolola y’e Kayonza nga omulimu guno gugenda kutwala emyezi 6 gyokka nga guwedde. Olwokwanguya omulimu guno, amakampuni abiri okuli eya Empa associates LTD ne Based Ways Contractors zezikwasiddwa okukola omulimu guno.