Latest News
0

Ababaka bazaalisizza omukyala e Hoima

Ababaka ba Palamenti abali ku kakiiko k’ebyobulamu basanze omukyala abadde asuliridde okuzaala nga alekeddwa ttayo ku ddwaliro lya Kikuube Health Centre IV Hoima. Ababaka abakyadde ku ddwaliro lino ku lw’okutaana tebasanze musawo n’omu mu ddwaliro so nga wabaddewo omukyala alumwa ku ssaawa nga kkumi ez’olwegulo.

Night Scovia bweyawulidde alumwa yetutte mu labour suite wabula nga teri musawo n’omu. Ababaka bwebalabye nga tewali musawo, Omubaka Omukyala owa Bundibugyo Bebona Barungi nga yasoma buzaalisa yasazeewo okumuzaalisa nga ayambibwako Dr. Micheal Bukenya omubaka wa Bukuya County nga naye mukugu mu Gyanaecology ne Obstetrics, Dr. Sam Lyomoki mubaka w’Abakozi n’omubaka Omukyala owa Butaleja Milly Mugeni.

Scovia yazadde omwana mulenzi nga azitowa kilo 3, Ssentebe w’akakiiko kano Dr. Bukenya yakubidde avunaanyizibwa ku ddwaliro lino wabula namutegeeza nti yabadde Kampala mu conference. Wabula oluvannyuma Dr. Gerald Asaba amyuka akulira eddwaliro lino yazze natandika okukubira abasawo abalina okubeera ku ddwaliro lino. Asaba yatabukidde Ababaka nga abagamba nti mu kifo kyo kukambuwalira abasawo abalina okukola bafeeyo okunoonyereza lwaki boosa ku mirimu.

Ababaka era bazudde nti eddagala eririna okubeera mu busenge bw’eddwaliro lyatwalibwa abasawo nebatandika okuliguza abalwadde.

More Similar Posts

Menu