ABABAKA 80 TETUBETAAGA MU YUGANDA

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Omubaka Joseph Gonzaga Ssewungu; “Mbadde mu Palamenti mu naye ba Minisita tebalabikako mu ntuula zonna. Tutondawo ekifo ekirala kyabwereere. Banange ddi lwetunaawa ku Ssemateeka w’Eggwanga ekitiibwa? Ssemateeka tunamuleka ddi afune wasiza?Olukiiko lwa Baminisita terulina kusinziira ku bungi bwa Bannayuganda. Baminisita 80 kitegeeza ssente; ezandiyambye okuzimba amalwaliro amalungi, amasomero wamu n’okulwanyisa ekirwadde kya #COVID-19. Baminisita bano tebalabikako mu Palamenti. Naliko ku mukolo ogumu Minisita najja, naye nga n’abawagizi ba National Resistance Movement – NRM tebamumanyi. Batandika kumbuuza, Hon. Ssewungu oyo yani?! Baminisita tebajja mu ntuula za Palamenti n’abajja obudde bwonna babumalako nga basumagira! Kati nebwobala Baminisita bameka abazze wano leero, bangi tebaliiwo.”
Share.

Leave A Reply