Abaawangula zzaabu Museveni abawadde obukadde 5 buli omu

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni agamba nti Gavumenti egenda kufuba okulaba nga esasula ensimbi ezibanjibwa bannabyamizannyo abawanguzi b’emidaali.

Bweyabadde ku kyemisana ne ttiimu eyeetaba  mu mpaka z’emizannyo egy’enjawulo eza Common Wealth mu Gold Coast Australia eggulo mu maka g’obwa Pulezidenti e Ntebbe , Museveni yategeezezza nti abaawangula zzaabu agenda kubawa obukadde butaano buli omu, aba Ffeeza obukadde busatu ate Ekikomo akakadde kamu kamu.

Joshua Kiprui Cheptegei yawangula emidaali gya zzaabu ebiri,  Stella Chesang  n’awangula ogwa zzaabu gumu songa Mercyline Chelangat yawangula kikomo (Bronze) ate n’omukubi w’ebikonde  Juma Miiro n’awagula ekikomo .

Yuganda yatwala ttiimu ya bannabyamizannyo 69 ab’etaba mu mizannyo omuli : Track and field events, Netball, Rugby, Table Tennis, Badminton, Squash, Swimming, Boxing, Weightlifting, Shooting ne Cycling.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
President atongozza webalondolera Camera