Aba China mukozese bulungi omukisa ogubaweereddwa – Pulezidenti Museveni

Pinterest LinkedIn Tumblr +
MUKOZESE BULUNGI OMUKISA OGUBAWEEREDDWA:
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yasabye abasigansimbi okuva mu Ggwanga lya China okukozesa obulungi omukisa oguliwo mu Yuganda mwebasobola okuteeka ensimbi. Bino yabyogeredde mu Lukuŋŋaana lwa Uganda -Jiangmen virtual investment conference olwabadde ku mutimbagano olwategekeddwa Omubaka wa Yuganda e Guangzhou wamu ne Jiangmen Municipal People’s Government. Kyo ekitebe kya China kivuddeyo nekitegeeza; “Yuganda, n’akatale kaayo akaaniriza buli omu, amateeka amalungi wamu n’abakozi abayitirivu, kifo kituufu aba China okusingamu ensimbi. Balina ebifo by’amakolero ebikulira ku sipiidi omuli; Mbale, Kapeeka, Mukono n’ebirala bingi.”
Share.

Leave A Reply